Hosea 11:8-9


8 a“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
9 bSiikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
Omutukuvu wakati mu mmwe:
sirijja na busungu.
Copyright information for LugEEEE